1 Ebyomumirembe 25:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abayimbi
25 (A)Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 26:12-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 (B)Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.
14 (C)Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.
Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.
15 (D)Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.
16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.
Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.
17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,
ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku
ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,
ne ku ggwanika babiri babiri.
18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.
19 (E)Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.
2 Ebyomumirembe 29:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza.
Read full chapter
Nekkemiya 12:46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
46 (A)Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.
Read full chapter
Zabbuli 68:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.