Abaruumi 5:15-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16 Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 17 (B)Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu.
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.
Read full chapter
Olubereberye 2:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
Read full chapter
Olubereberye 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Mu ntuuyo zo
mw’onoggyanga ekyokulya,
okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,
kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
Abaruumi 6:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.