Makko 16:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu.
Read full chapter
Lukka 24:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuzuukira kwa Mukama Waffe
24 (A)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana.
Read full chapterFootnotes
- 24:1 Lwassande, lwe lunaku olusooka mu wiiki
Okuva 12:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.
Read full chapter
Okuva 20:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.