Okubikkulirwa 4:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,
“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
Ezeekyeri 1:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.