Olubereberye 5:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
Abaruumi 8:20-22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 21 (B)Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.
22 (C)Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera.
Read full chapter
Yobu 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
Yobu 14:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
Omubuulizi 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.