Yoswa 19:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.
Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
Ekyamateeka Olwokubiri 3:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni.
Read full chapter
Yoswa 12:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Bakabaka Abaawangulwa
12 (A)Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Zabbuli 98:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Emigga gikube mu ngalo
n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.