2 Ebyomumirembe 16:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng’eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 19:1-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. 2 (A)Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako. 3 (B)Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.