Abakkolosaayi 2:20-22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 (B)Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso.
Read full chapter
Isaaya 29:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Mukama agamba nti,
“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,
ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,
naye ng’emitima gyabwe gindi wala.
Okunsinza kwe bansinza,
biragiro abantu bye baayigiriza.
Malaki 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.