Ebyabaleevi 23:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.
Read full chapter
Ebyabaleevi 23:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”
Read full chapter
Okubala 29:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra
7 (A)“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna.
Read full chapter
Isaaya 58:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
musigala munyigiriza abakozi bammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.