Ekyamateeka Olwokubiri 13:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,
Read full chapter
Yeremiya 30:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ndi wamu nammwe
era ndibalokola,
wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,
siribazikiririza ddala mmwe,’
bw’ayogera Mukama.
Ndibakangavvula n’obwenkanya,
siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
Malaki 3:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.
Read full chapter
Okubala 23:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
Asuubiza n’atatuukiriza?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.