Ekyamateeka Olwokubiri 32:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
Ekyamateeka Olwokubiri 32:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,
ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.
Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,
ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
Omubuulizi 6:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
Isaaya 45:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.