Kaabakuuku 2:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
Zekkaliya 2:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”
Read full chapter
Zeffaniya 1:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku lwa Mukama Olukulu
14 (A)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
Isaaya 13:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
Isaaya 34:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
Yeremiya 46:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.