Lukka 1:46-55
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (A)Maliyamu n’agamba nti,
47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Zabbuli 9:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
Footnotes
- 9:14 Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga.
Zabbuli 13:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
Zabbuli 89:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
Zabbuli 89:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
Zabbuli 92:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
Isaaya 12:2-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (B)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.