Okubala 1:5-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:
“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 (B)mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 (C)mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 (D)mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 (E)Okuva mu baana ba Yusufu:
mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 (F)mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 (G)mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 (H)mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 (I)mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
16 (J)Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.