Okuva 15:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
akola ebyamagero?
Ebyabaleevi 19:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 32:30-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
abalabe baffe bakiriziganya naffe.
2 Samwiri 22:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)N’ayogera nti,
“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
2 Samwiri 22:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.