Yeremiya 4:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Kubanga abantu bange basirusiru,
tebammanyi.
Baana abatalina magezi;
abatategeera.
Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,
tebamanyi kukola birungi.”
Amosi 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
mutulugunya obutuukirivu.
Amosi 6:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
Zeffaniya 1:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Awo ku lunaku olwo ndibonereza
abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
Kaabakuuku 2:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kubanga onyaze amawanga mangi,
abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.