Zabbuli 61
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.