Zabbuli 88:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
Koseya 2:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
Footnotes
- 2:15 Akoli kitegeeza emitawaana
Zabbuli 124:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (A)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.